
Aba famile y’omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake bafulumizza ebifaananyi ebiraga embeera omubaka ono gyalimu.
Abasawo abatali bamu balabibwa nga bamwekebejja mu bifaananyi bino era mukyala we Briget Namirembe agamba nti embeera gyalimu tennaba kutereera kuba obulumi bukyali bungi nnyo.

Zaake ali mu ggwanga erya Buyindi kyoka mukyala we Namirembe agamba nti bba (Zaake) babadde bamuggye mu kasenge k’abayi ne ku byuma kyokka embeera yazeemu okwononeeka ne baddamu okuyita abasawo okumwekebejja.

Omubaka Zaake y’omu ku babaka abakubwa mu bitundu bya Arua ku bigambibwa nti bakola effujjo eryavirako emu ku mmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino okubwa amayinja ndabirwamu neyiika.