
Kyaddaki Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni atendereza enkola eya “People Power” eyongedde okusanikira eggwanga lino nga bannayuganda babanja enkyukakyuka mu bukulembeze.
Pulezidenti Museveni bw’abadde anyonyola eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’okusingira ddala mu bibuga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe mu kiro ekikeseza leero, agambye nti People Power bangi ku banabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti tebategeera amakulu gakyo.

Agamba nti gye buvuddeko, ekibiina kye ekya NRM kyawangula ebitundu ebisinga obungi mu kulonda kwa bassentebbe ku byalo n’obukiiko bw’abakyala mu ggwanga, akabonero akalaga People Power.
Mungeri y’emu agambye nti ebikolwa biraga People Power wabula ssi bigambo.

Ku nsonga ya Bobi Wine okutuula ne Pulezidenti Museveni okuteesa ku bigenda mu maaso mu ggwanga, agambye nti teyetaaga muntu yenna kuteesa ku ngeri y’okulembera eggwanga kuba NRM erina abantu abamala abakugu okutekerateekera eggwanga lino.
Kyoka agambye nti okuteesa ku ngeri gye bayinza okutekateeka okulonda omutali ffujjo entekateeka zikolebwa ebibiina eby’egattira mu mukago gwa interparty dialogue (IPOD).
https://www.youtube.com/watch?v=IWccR70J2s4