
Pulezidenti w’eggwanga lino Uganda Yoweri Kaguta Museveni asambaze ebigambibwa nti Gavumenti ya National Resistance Movement (NRM) ekulembeddemu okutta abantu nga beyambisa emmundu mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Museveni agamba nti “NRM kafulu nnyo mu kweyambisa emmundu era tasubira nti mu nsi yonna waliwo ekitongole kyona ekisinga Uganda People’s Defence Force (UPDF)”.

Agamba nti wadde bakafulu nnyo, tebenyigirangako mu kutta muntu yenna ebanga ly’amaze n’emmundu emyaka egisukka 37 ng’ali mu maka ge, ku mulimu oba okumusangiriza ng’adda awaka.
Pulezidenti Museveni bw’abadde anyonyola eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’okusingira ddala mu bibuga ng’asinzira mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe mu kiro ekikeseza leero, asuubiza nti NRM yakweyongera okukuuma emirembe n’okuyigga abakyamu abatigomya eggwanga lino.
https://www.youtube.com/watch?v=CqgcYdnl9CM