Omuyimbi Fik Fameica y’omu ku bayimbi mu Uganda aliko mu kiseera kino era ennyimba ze zagalwa abantu bangi nnyo ennaku zinno.

Fik wadde abantu bangi bagamba nti asukiridde okukoopa ennyimba z’abayimbi abalala, ye sibyaliko kuba abantu banyumirwa ennyimba ze.

Omuyimbi Fik bwe yabadde mu kivuulu ekimu, yakubye omuziki era abantu bangi bavuddeyo nga bonna bamatidde oluyimba lwe “Byenyenya”.