
Poliisi etegezeza nga bwekutte basajja bayo bana (4) abakolera ku poliisi y’e Kajjansi abalabiddwako mukatambi akabadde kayita ku mikutu gya Social Media nga batulugunya omukwate.
Kigambibwa nti omuvubuka eyabadde atulugunyizibwa ye Kassim Migadde eyakwatibwa ng’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akomawo kuno sabiti ewedde ku Lwokuna.
Migadde yakwattibwa n’okubwa lwakusangibwa ng’ayambadde essaati eriko ekifaananyi kya Bobi Wine n’ekigambo “People Power”.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Ongango, abasirikale 4 bakwattiddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza era avumiridde ekikolwa ekyakoleddwa abasirikale babwe.