Olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine yalambuddeko famire y’omugenzi Yasin Kawuma eyali dereeva we eyattibwa mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018 olw’effujjo n’obukambwe obwakoleddwa amaggye ne poliisi ku bawagizi ba Kasiano Wadri ku bigambibwa baakuba amayinja emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ndabirwamu neyiika.

Wabula Bobi yawerekeddwako abayimbi abenjawulo ababadde tebasuubirwa omuli Geoffrey Lutaaya, Dr Hilderman, Ronald Mayinja n’abalala.

Bangi ku bannayuganda bagamba nti abayimbi bbo balina kye babaza omuli okwesimbawo mu 2021 era bagala kweyambisa Bobi Wine okukitukiriza okufuna obuwanguzi.