
Kyaddaki omuyimbi Bebe Cool awadde ensonga ze lwaki yalemeddwa okuyimba mu kivvulu kya Gravity omutujju ekyabadde e Lugogo olunnaku olw’eggulo ku lwomukaaga.

Bebe asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okwetondera Gravity okulemererwa okuyimba mu kivvulu kyoka agambye nti yabadde alina ensisinkano n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni gwayise “JAJJA of the nation”.

Bebe ku face book agambye bwati “Oooh congz my young brother Gravity, sorry i missed the performance coz i had an urgent/important meeting with JAJJA of the nation.
But am glad it was a success, so was my meeting.
By the way kampite wagulu, sigwa kubobucupa mukubo nga nkomawo. See you in a minute”.