Omuyimbi Bebe Cool alabudde abavubuka abamukuba obucupa gye buvuddeko mu kivvulu ekyali e Lugogo okweddako.

Bebe abadde ku nnyonyi okugenda eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agambye nti abaamukuba obucupa balinde mu kalulu kuba tayinza kutunula ng’abavubuka babuzabuzibwa.

Bebe Cool ne Pulezidenti Museveni
Bebe Cool ne Pulezidenti Museveni

Mungeri y’emu agambye nti wadde yakubwa obucupa, we yakoma waagenda okutandikira.

 

Bebe era agambye nti yalemereddwa okuyimba mu kivvulu kya Gravity omutujju olunnaku olw’eggulo kuba yabadde eyitiddwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Bebe ku face book agambye bwati “Oooh congz my young brother Gravity, sorry i missed the performance coz i had an urgent/important meeting with JAJJA of the nation.

But am glad it was a success, so was my meeting.

By the way kampite wagulu, sigwa kubobucupa mukubo nga nkomawo. See you in a minute”.