Pulezidenti w’abantu Basajja Mivule Bwadene Nsolonkambwe alabudde bannayuganda abalemeddeko nti bagala obuyinza mu kisinde kyabwe ekya “People Power”.

Mivule yabadde ku NBS TV mu pulogulamu the Eagle olunnaku olw’eggulo ku Ssande ne banne okuli amyuka omuwandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija, avunaanyizibwa ku by’amawulire ku kitebe kya NRM Rogers Mulindwa ng’ekubirizibwa Simon Muyanga Lutaaya n’ategeeza nti mu Uganda temuli buyinza bw’abantu (People Power) era abakikulembeddemu beenonyeza byabwe omuli ssente.

Basajja Mivule Bwadene Nsolonkambwe
Basajja Mivule Bwadene Nsolonkambwe

Mungeri y’emu agambye nti Bobi Wine ye People Power n’abantu bawaansi abali mu mbeera embi kyoka bangi ku bali ku lusegere lwe, bakozi ba ssente era ku bantu 10, 6 banoonya ssente.

Basajja Mivule agamba nti People Power eyali mu South Africa ne Kenya, mu Uganda tenatuuka kuba buli muntu yenoonyeza bibye.

Bobi Wine ne banne aba People Power
Bobi Wine ne banne aba People Power

Mivule agamba nti embeera eyo eri mu ggwanga teyinza kusindikiriza mukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni wadde okumutiisa.

Okumanya ebigambo bya Pulezidenti Basajja Mivule Bwadene Nsolonkambwe genda ku ddakika 1:04:07

https://www.youtube.com/watch?v=5009wZRRJmk