Ekigambo People Power kyawambye ekivvulu kya Gravity omutujju e Lugogo sabiti ewedde ku Lwomukaaga nga 22, August, 2018.

Omuyimbi Eddy Kenzo bwe yalinye ku siteegi, yayimiriza endogo, okusomesa abantu ebikwata ku People Power mu ggwanga lino.

Kenzo akoowodde abantu bonna okwewala effujjo mu kampeyini ya People Power kuba kiyinza okuvirako abantu abamu okuttibwa.

Kenzo mu kivvulu
Kenzo mu kivvulu

Agamba wadde betaaga enkyukakyuka, balina okwegendereza ennyo okwewala okuttibwa n’okusibwa.

Kenzo era agamba nti babadde bamulemeseza okuyimba oluyimba lwa Biwoobe, yalemeddeko nnyo kuba tatya kusibwa era akowoodde abantu bonna okweyongera okusabira muyimbi munne Bobi Wine.

https://www.youtube.com/watch?v=jAk7NThPggY