
Uganda, bangi ku bavubuka balemeddeko bagala nkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga lino kuba abamu balumiriza nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alemeddwa okukola ku nsonga zabwe.
Abavubuka bagamba nti bayita mu kusomozebwa okutagambika omuli ebbula ly’emirimu, obuli bw’enguzi n’ensonga endala.

Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine myaka 36 yayingira ebyobufuzi okusobola okuyambako mu kukyusa embeera mu bavubuka.
Ku lunnaku Olwokutaano nga 28, September, 2018, Bobi Wine y’omu ku bannabyabufuzi abayitibwa ku mukolo e Masaka nga bannakibiina kya Democratic Party (DP) batema empenda okwegata okusobola okukwata obuyinza mu 2021, okuwangula Yoweri Museveni.

Mu kwogera kwe, Bobi Wine yagambye nti okwegata n’okweyambisa obuyinza bwabwe (People Power) kigenda kubayamba nnyo okuleeta enkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga lino.
Mungeri y’emu yakaatiriza nti wadde bakoleddwako ebikolwa ebyefujjo, tebagenda kupowa era buli munnayuganda atekeddwa okuvaayo okulwanirira enkyukakyuka gye betaaga.