Ekigendererwa kya Democratic Party (DP) okwegata okusobola okukwata obuyinza mu 2021, kyolekedde okusanyalala olw’obutakaanya obutandiise okweyoleka.

Mu kiseera kino, amyuka pulezidenti w’ekibiina kya DP Fred Mukas Mbidde ayambalidde Pulezidenti wa People ‘s Development Party (PDP) Dr, Abed Bwanika olw’okweyingiza mu nsonga z’ekibiina kyabwe ate naye alina ekikye kyakulembera.

Abed Bwanika
Abed Bwanika

Mbidde era alumirizza Bwanika wamu n’omubaka wa munisipaali ye Masaka Mathias Mpuuga okumuwendulira abavubuka bamukubire mu lukungaana lw’ekibiina kya DP olw’okwegatta olwabadde e Masaka ku lunnaku Olwokutaano.

Fred Mukas Mbidde
Fred Mukas Mbidde

Agamba nti Bwanika alemeddwa okuzimba ekibiina kye ekya PDP nasalawo okutabangula DP kyebatagenda kukiriza.

Wabula Bwanika agamba nti Mbidde okulangirira okwesimba ku Mpuuga mu 2021 ku kya Paalamenti, kabonero akalaga obuluvu n’okweyagaliza.