Omuyimbi Catherine Kusasira ayogedde amazima nti omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alina abawagizi era tewali muntu yenna ayinza kumuwangula mu kitundu kye kuba muyimbi.

Bobi Wine
Bobi Wine

Kusasira agamba nti ayagala nnyo Bobi Wine kuba ne mukampeyini yamuyimbirako kyoka baawukana ku bintu bingi nnyo.

“Bobi Wine mwagala nnyo naye mu byobufuzi twawukana, Nze mpagira Museveni”, Kusasira bwatyo bwayogedde.

Yoweri Museveni
Yoweri Museveni

Mungeri y’emu Kusasira atabukidde abamuvumirira okugenda eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuggyawo amabugo okuyamba famire z’abantu okuli Yasin Kawuma eyali dereeva wa Bobi Wine, ASP Muhammad Kirumira n’abalala.

Agamba nti obutagaliza ne futwa y’emu ku nsonga lwaki abantu bamwogerera.

https://www.youtube.com/watch?v=gJSSZqMbIvU