
Omuyimbi Fille Mutoni myaka 27 yekokodde abasajja abasukkiridde obulimba mu laavu era y’emu ku nsonga lwaki tayinza kuddamu kwagala musajja yenna.
Mu vidiyo y’oluyimba lwe “Love Again”, Fille agamba nti abasajja bonna bafaanagana era bakaabiza abakyala bangi nnyo amaziga.

Mu luyimba, Fille alaga nti waliwo omusajja omulala ayagala omukwano gwe kyoka amusabye amukakase nti ye simulimba kuba ayinza okwagala okumukozesa ng’abalala.
Fille mukyala wa Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats era kigambibwa nti oluyimba wadde lwa laavu, bba alina okwetereeza.
https://www.youtube.com/watch?v=lDPwJ60xGBQ