Omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania ayugumizza eggwanga erya Namabia era bannansi mu ggwanga eryo bakiriza nti omwana alina “Work”.

Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga embeera eyabadde mu ggwanga eryo ng’abantu babadde bangi nnyo, ekiraga nti bamatira ennyimba ze.

Kimanyiddwa nti Platnumz y’omu ku bayimbi mu Africa n’okusingira ddala mu ggwanga erya Tanzania abawambye ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ezenjawulo omuli Africa Beauty, Sikomi, Kidogo, Marry You, Salome n’endala.

Omwaka oguwedde ogwa 2017, Platnumz yakulemberamu abayimbi okukyamula bannayuganda mu kivvulu ekitegekebwa ekitongole ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) buli mwaka okusanyusa abantu ku bwereere.