
Omuyimbi Eddy Kenzo kirabika alemeddwa okukikirira obulungi abayimbi eri Rema Namakula ku nsonga z’omukwano.
Mu nsi yonna, abakyala baagala nnyo okwagala abasajja ba serebu omuli abayimbi kyoka Rema wadde muyimbi nga ne bba Kenzo muyimbi era amanyiddwa kumpi mu nsi yonna, Rema agambye nti tayinza kuddamu kwagala muyimbi mu bulamu bwe.

Rema agaanye okuwa ensonga lwaki tayinza kuddamu kwesiga muyimbi yenna wadde bangi ku bannayuganda bagamba nti Kenzo alemeddwa okuwa omukyala obudde ekiretawo okuwankawanka mu nsonga z’omukwano.

Wadde eyogedde ebigambo ebyo, akakasiza nti ye ne Kenzo bakyayagalana.
Kenzo ne Rema balina omwana era balina amaka mu bitundu bye Seguku.