
Kyaddaki Frank Gashumba avuddeyo kubigambibwa nti yabonereza muwala we Sheila Gashumba.
Okuva ku Mmande sabiti eno, amawulire gatandiika okufuluma nti Sheila Gashumba yakubiddwa era kiteberezebwa nti bamukuba ku Ssande ekiro.

Wabula taata w’omwana Gashumba akakasiza nti muwala we yamubonereza ng’omuzadde kyoka agaanye okuwa ensonga lwaki yakikoze.

Mungeri y’emu agambye nti abantu balina eddembe okwogera kyoka tayinza kutambuliza nsonga za famire ku Face Book.
Wabula kigambibwa nti Sheila Gashumba okwagala abasajja omuli n’omuyimbi Fik fameica y’emu ku nsonga lwaki yakubiddwa wadde kitaawe agaanye okuwa ensonga.