Mu Uganda bangi ku basajja abeegomba omubiri gw’omuyimbi Winnie Nwagi era y’emu ku nsonga lwaki abasinga okwagala ennyimba ze, basajja.

Abasajja bagamba nti Nwagi alina omubiri omulungi era bangi bamwegomba nti kirabika anyumisa nnyo akazannyo bwekituuka mu kaboozi.

Nwagi amanyikiddwa olw’ennyimba ze omuli Kano Koze, Katono Katono, Munange, Kibulamu, Musawo, Olukoba, Magic n’endala era bangi ku bawagizi be bagamba nti ayimba bulungi kuba agonda ekiwato wadde mukyala munene.

Ku mukutu ogwa Instagram, Nwagi ataddeyo vidiyo ng’aweweeta amabeere, ekitengudde emitima gy’abantu bangi nnyo era abamu bagambye nti alina ennyonta y’akaboozi.