Omubaka we Bukono mu disitulikiti y’e Namutumba era minisita omubeezi ow’eby’ettaka Persis Namuganza, agaanye okukkiriza alipoota y’akakiiko ka palamenti akakwasisa empisa, akaamusingisiza omusango gw’okuvoola sipiika Rebecca Kagada n’okutatana ekitibwa kya palamenti.

Namuganza agamba nti akakiiko kabaddemu kyekubiri n’okuzinira ku ntoli za Sipiika Kadaga okusobola okufuna omukisa okusindikibwa mawanga g’ebweru okulya obulamu.

Mungeri y’emu agambye nti akakiiko kalemwa okugenda e Bukono okwekeneenya n’okufuna obujjulizi ekivaako obuzibu, ekiraga nti alipoota tetuukiridde.

Minisita Namutumba agamba nti ensonga zabwe bagenda kweyongerayo mu kkooti okusobola okufuna amazina n’obwenkanya.

Obutakkaanya bwa Namuganza ne Kadaga bwatandika oluvannyuma lwa Kadaga okukuliramu omukolo gw’okutuuza Omulangira w’e Bukono nga February 26, 2018 ekintu Namuganza ky’awakanya.

Persis Namuganza
Persis Namuganza

Embeera eno yawalirizza abayizi Abasoga abeegattira mu kibiina kya Basoga Nseete abasomera mu ttendekero lya Uganda Institute of Information and Communication Technology e Nakawa okusaba minisita w’ebyettaka Persis Namuganza aveeyo yeetondere Kyabazinga, Sipiika Rebecca Kadaga n’Obusoga bwonna.

Minisita Namuganza kigambibwa nti, yali ku mukolo ogw’okutongoza amazzi ga nayikonto e Bukhono n’alagira abantu okukwata amayinja n’embooko bakube Kyabazinga Gabula Nadiope IV ng’akyadde mu kitundu ky’e Bukhono.

Yalangira Sipiika Kadaga nga bw’alemeddwa okusakira Busoga n’awa ekyokulabirako nti Gavumenti yassaawo pulogulaamu z’ebyenkulaakulana ez’enjawulo omuli eya NUSAF mu mambuka g’eggwanga, eya Rwenzori mu bugwanjuba, Minisitule y’e Teso ne pulogulaamu y’e Luweero Triangle naye nti’ Busoga teweebwangako pulogulaamu eyenjawulo n’akissa ku Kadaga nti yalemesezza buli kintu.

Bagamba nti Namuganza teyakoma awo yagenda mu maaso n’ategeeza nti, ayagala essaza lya Bukhono lyekutule ku Busoga lyegatte ku Bulamoji eritwalibwa Omulangira Edward Columbus Wambuzi eyavuganyaako ne Gabula ku ntebe y’Obwakyabazinga.