Omuyimbi Sheebah Kalungi akyamudde abadigize ku kirabu Amnesia mu Kampala mu kiro ekikeseza leero ku Lwokutaano.

Sheebah abadde ayambadde obugoye obusikiriza abalabi asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Mummy Yo, Akkuse, Muwe, Tonzoleya, Nkwatako n’endala, ekiwadde abantu bonna essannyu.

Mu Uganda, Sheebah y’omu ku bakyala abasobodde okukola ennyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.