Omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyikiddwa nga Bobi Wine yekokodde ebitongole mu Gavumenti ya NRM okulemwa okutambuza emirimu gyabyo era y’emu ku nsonga lwaki ekivvulu ky’oluyimba ‘Kyarenga” kyayimiriziddwa omulundi ogw’okubiri mu kisaawe kye Namboole.

Bobi agamba nti, abakulira Namboole tebalina nsonga lwaki bayimiriza ekivvulu kye, wabula wadde bakoze buli kimu okumulemesa, ekivvulu kirina okubaayo era batandiise entekateeka okunoonya ekifo ekirala.

Mungeri y’emu agambye nti nga 20, October, 2018 bamulemesa nga bekwasa nti balina emikolo ate nga 9, November, 2018 era bamulemeseza nga beyambisa ekitongole ekitwala omupiira gw’ebigere mu ggwanga Uganda ekya FUFA nti ekivvulu ekiyinza okwonoona ekisaawe.

Bobi Wine bw’abadde ayogerako eri abawagizi be mu busungu agambye nti “Oyo cowboy tulina okumuggya mu ntebe n’entebe gyatuddemu ate tugyagala”.

https://www.youtube.com/watch?v=mRIOA1FAOwM