
Mu nsi yonna buli muntu ayagala nnyo okufuna munne nga ensonga z’omukwano n’okusingira ddala mu kisenge azitegeera bulungi ddala.
Mu ggwanga erya Tanzania, bangi ku bakyala bayayanira omuyimbi Diamond Platnumz ku nsonga z’omukwano.
Platnumz y’omu ku bayimbi abayimba ennyimba z’omukwano era kimufudde mugaanzi nnyo eri abakyala.

Olw’embeera eyo, Platnumz asobodde okweyambisa omukisa ogwo okuganza abakyala abenjawulo omuli n’abawala abato.
Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga eyaliko mukyala we Zari Hassan kyasubwa.

Platnumz abadde mu kisenge ku buliri ng’ali mu kuyimba oluyimba lwe, okulaga Zari nti asubwa nnyo omubiri gwe, laavu n’okwemola kwe ku nsonga z’omu kisenge.