Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White, akangudde ku ddoboozi, atabukidde omubaka we Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine obutakola kimala okuyamba abantu b’omu Ghetto.

Bryan White agamba nti Bobi alemeddwa okutegeeza abantu be nti okunywa ebiragalaragala omuli enjaga, kyabulabe era bangi ku abatuuze b’omu Ghetto bakyalowooza nti buli muntu yenna asobola okunywa enjaga, nasigala nga w’amaanyi ne yesimbawo ku kifo eky’obuvunanyizibwa nga Bobi Wine bwabuuzabuza abalonzi.

Bobi Wine
Bobi Wine

Agamba nti Bobi Wine ateekeddwa okweyambisa eddoboozi lye okusomesa abantu b’omu Ghetto, ebizibu ebiri mu kunywa ebiragalaragala n’okusingira ddala enjaga.

Bryan White agamba nti kikyamu nnyo omuntu yenna okulowooza nti omuntu asobola okunywa enjaga oluvanyuma nafuuka omukulembeze w’eggwanga era Bobi Wine alina okuvaayo okuyamba Gavumenti okuvumirira ebintu ebikyamu omuli okunywa enjaga.