
Omuyimbi Vincent Ssegawa owa Kadongokamu alemeddeko okunoonya omukyala ayinza okumukuuma n’okulabirira abaana be.
Ssegawa sabiti ewedde ku Ssande, yalabikira ku Bukedde TV ng’anoonya omukyala era mu sabiti emu, afunye abakyala abasukka 50 basisinkanye nga bamaliridde okufumbirwa.
Ssegawa alina ebisaanyizo ku mukyala gwayagala omuli obuzaale n’endagamuntu kukakasa nti munnayuganda , atasussa myaka 25, buli mukyala alina okuleeta kifaananyi ekirabika obulungi.

Bwe yabadde asisinkanyeko abakyala ku Holly Fam e Nansana, abakyala abasinga baabadde balabika ng’abaafumbako ne balemwa amalya, abalala abazze ne babbebi ekyewuunyisizza abaabaddewo omuntu anoonya ne bbebi we.
Wabula Ssegawa agamba nti alina okunoonya omukyala omutuufu agwanidde amaka era wakugenda mu ggwanga lyona okunoonya omukyala oyo.
Mungeri y’emu agambye nti engeri gyakuttemu ensonga enungi nnyo okusinga abazadde okumunoonyeza omukyala kuba akulungudde emyezi 8 nga takombako ku kibala kya Adam ne Eva.
Ssegawa era atabukidde abayimbi abagambye nti yakoze nsobi okugenda ku ttiivi okunoonya omukyala kuba abakyala bangi nnyo abamwegomba era yaswadde nnyo.
Mu kwanukula agambye nti abayimbi abamu balungi nnyo mu kwagala ba House Girl kuba ye tayinza kukikola.