
Mu nsi yonna, buli muntu alina ekiseera kye mu ngeri ezenjawulo okuli bulamu, ebyemizannyo, obugagga era zezimu ku nkyukakyuka abantu zebayitamu.
Okusinzira ku mutunulizi w’Ensonga mu byobufuzi Dr A A Kaliisa, ekiseera kya Dr Kizza Besigye eyali Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC) kyagwako dda.

Dr Kaliisa bwe yabadde ku NBS mu pulogulamu Ensi Nebyayo olunnaku olw’eggulo ku Ssande, yagambye nti kati omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine yaaliko.

Mu kwogera kwe, yabadde Dr Besigye amagezi okugenda okukwatira Bobi Wine ensawo nga Pulezidenti w’ekibiina kya People’s Development Party (PDP) Dr Abdel Bwanika bweyakola.
Dr Kizza Besigye avuganyiza ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi ena (4) era buli mulundi amaliridde mu kyakubiri (2).
Kigambibwa mu 2021, FDC eyinza okuddamu okumukwasa bendera y’ekibiina okuddamu okuvuganya ku bwa Pulezidenti.