
Wadde bangi ku bannayuganda bagamba nti ebyatuuka ku mukyala Zari Hasana, ayinza obutaddamu kwagala musajja yenna kirabika kikyamu.
Zari alina abaana bataano (5), basatu (3) yabazaalira omugenzi Ivan Ssemwanga ate babiri (2) omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania.

Omwaka ogwa 2017, Zari yafuna obutakaanya ne bba Platnumz oluvannyuma ne bawukana.
Wabula Zari abadde yesonyiwa eby’abasajja nga bangi ku bantu bagamba nti ayinza obutaddamu kufumbira.

Gye buvuddeko yegatta ku kibiina ky’omugagga Bryan White ekya Bryan White Foundation okuyambako mu kukyusa embeera z’abantu omuli okulwanyisa ebiragalaragala, okubasomesa okwetandikirawo emirimu n’ensonga endala.
Zari wadde bangi ku basajja bamwegomba, asobodde okulaga omusajja mukwano gwe wadde abamu bagamba nti ayinza okuba omu ku basajja abafukirira ekitone kye.
Ku mukutu ogwa Face Book, bangi bagamba nti Zari avudde ku muddaala kuba afunye omusajja omulala ayinza okumutegeera.
Kigambibwa omusajja ye Muty Stano era y’omu ku mikwano gya Zari amuyambeko mu kutambuza emirimu.