
FRANK Gashumba owa Sisimuka Uganda atabukidde omubaka we Mukono Betty Nambooze Bakireke okweyingiza mu nsonga za Famire ye.

Gashumba agamba nti Nambooze yasobola okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza nti muwala we Sheilah Gashumba alina emyaka 22 era waddembe okwesalirawo ku buli nsonga yonna nga tekyetagisa kukubwa.

Gashumba abadde omusunguwavu ennyo, atandikiddewo n’ekigambo “Hopeless”, abantu okweyingiza mu nsonga ze batamanyi era ezitabakwatako.
Gashumba abadde ku BBS TV mu pulogulamu Tebinkolera agamba nti omuzadde yenna ateekeddwa okulabirira n’okulambika omwana we era tewali muntu yenna ayinza kumuyingirira.

Kinnajjukirwa nti gye buvuddeko Frank Gashumba yabonereza muwala we Sheilah Gashumba kubigambibwa nti yali atandiise okwononeeka omuli okugaanza abalenzi era omuyimbi Fik Fameica y’omu ku bateberezebwa.
Gashumba okutabuka kabonero akalaga nti tewali muntu yenna ayinza kwesembereza muwala we Sheilah era Fik bwa’aba yegoomba Sheilah bambi alina okukyesonyiwa.