Omulamuzi wa Buganda Road, Stella Amabilis agobye okusaba kw’omuwala Namata Susan myaka 21, okweyimirirwa asobole okwewozaako ng’ava bweru wa kkomera.

Namata nga mutuuze w’e Najjeera mu Municipality Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, yaguddwako emisango ebbiri omuli okusasaanya ebintu ebinyiza, ebivvoola n’okumalako ekitiibwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni nga yeyambisa omutimbagano ( internet).

Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni

Kigambibwa nti mu August, 2018, Namata ng’ali ne banne bakyayigibwa, bakwata akatambi nga bavvoola Pulezidenti Museveni nga beyambisa ebigambo ebisongovu omuli okumukubisa ebitundu byabwe eby’ekyaama ku mannyo gge, afaanagana obutuliro n’ebigambo ebirala, ebiwawaaza amatu.

Namata ne banne, baasobola okweyambisa omukutu ogwa WhatsApp, okusasaanya akatambi kabwe okutuusa Poliisi, lwe yalondoola essimu ye, nakwatibwa naggalirwa nga 27, August, 2018 wadde emisango  gyonna n’agyegaana.

Namata ne banne
Namata ne banne

Namata yadduukidde mu kkooti okusaba okweyimirirwa kyoka oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Mariam Njuki, basimbidde ekkuuli eky’okumuyimbula kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza ate fayiro y’omusango gwe, ekyali ku Poliisi.

Omulamuzi ayongezaayo omusango, okutuusa nga 20, November, 2018 ate Namata asindikiddwa ku Limanda mu kkomera lye Luzira.

Namata mu vidiyo ne banne baali bawakanya ekya Poliisi okusibira omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine mu kkomera ly’amaggye e Makindye, bwe yali akwattiddwa kwebyo ebyali mu bitundu bya Arua nga 13, August, 2018 ebyavirako emu ku mmotoka ya Pulezidenti Museveni okukubwa amayinja endabirwamu neyiika.