
Poliisi y’e Kitigoma ekutte Denis Kasozi myaka 27 ku by’okutta omwana omuto Shavin Katongore myaka 3.
Kasozi yakutte akambe nasala obulago bw’omwana wa mwanyina Katongore era nafirawo.
Omulambo gwa Katongore gusangiddwa abatuuze mu kitaba ky’omusaayi ekitabangudde abatuuze bonna ku kyalo Namanyonyi mu ggoombolola y’e Kitigoma mu disitulikiti y’e Buikwe.
Abatuuze balumbye Poliisi y’e Kitigoma okuggyayo Kasozi naye attibwe kyoka Poliisi esobodde okweyambisa omukka ogubalagala n’amasasi mu banga okugumbulula abatuuze abasoba mu 50 ababadde betoolodde Poliisi nga bakute amayinja, emiggo n’ebijjambiya.
Poliisi ekutte Kasozi nateekebwa mu kabangali yaayo natwalibwa ku Poliisi y’e Lugazi wakati mu byokwerinda.