
Omuyimbi Spice Diana agudde mu bintu, kampuni y’amazzi eya “Yaket Water” bwatadde ssente mu konsati y’oluyimba “Ndi mu Love” nga 15, January, 2019 ku Freedom City e Namasuba.
Spice asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga essanyu era bwamukwasiza “Cheque” kyokka agaanye okwatukiriza omuwendo gw’ensimbi ogumuweereddwa mu butongole.
Mu Uganda, y’omu ku bayimbi abato era asobodde okumanyika mu bantu abamu olw’ennyimba ze omuli Anti Kale, Ndi mu Love, Bwebityo, Nze Akwagala, Asipolo, Thirty Two n’endala.
Sabiti ewedde yawezezza emyaka 22 egy’obukulu.