Omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ayongedde okulaga nti ye talina buzibu bwona n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni era wakweyongera okuyamba abantu.

Bryan White agamba nti Museveni yakulembera eggwanga lino era bannansi bonna bali wansi we.

“Nze ndowooza nga ogyeko Katonda, abantu abali mu Uganda we belong to Kaguta, tuli bantu ba ggwanga naye eggwanga eryo yalikulira, kati omuntu wosanga omuntu akola ebintu ng’abikolera abantu abo, what do you do”, Bryan White bwanyonyodde lwaki alabikira nnyo mu bifaananyi ne Museveni.

Yoweri Kaguta Museveni
Yoweri Kaguta Museveni

Mungeri y’emu Bryan White agambye nti Museveni okumuwa omukisa okusisinkana, kabonero akalaga nti asiima emirimu gye omuli okuyamba abantu mu ngeri ezenjawulo.

Bwe yabadde ku Urban TV mu Pulogulamu “Scoop on Scoop” Bryan White agambye nti abantu bangi nnyo abali mu mbeera embi nga betaaga okuyambibwa era y’emu ku nsonga lwaki yavaayo okuyambako.

Essaawa yonna Bryan White ayolekera bitundu bya Arua okuyamba abantu mu ngeri ezenjawulo omuli okubasomesa ebyemikono n’okubawa entandiikwa.