ENTIISA ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kamuli mu ggoombolola y’e Malangala mu disitulikiti y’e Mityana, mutuuze munaabwe bwatiddwa mu bukambwe.

Omulambo gwa Ssali Fred gwasangiddwa mu nsiko era okumpi n’omulambo wasangiddwawo obuccupa bw’omusaayi, ekitabudde abatuuze.

Kiteberezebwa nti Ssali yasaddakiddwa kuba abadde mutabufu wa bwongo era abatuuze basabye Poliisi okunoonyereza abenyigidde mu kutta mutuuze munaabwe.

Wamala Nobert Ochom
Wamala Nobert Ochom

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Nobert Ochom agambye nti batandiise okunoonyereza okuzuula engeri Ssali gye yattiddwamu kuba kiteberezebwa nti yasaddakiddwa.

Ochom agamba nti omusawo wa Gavumenti agenda kwekebejja omulambo okutegeera engeri Ssali gye yattiddwa.