Kyaddaki Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku nsonga z’okukuba omukyala Rema Namakula embaga.

Mu Uganda, bangi ku bawagizi ba Kenzo balemeddeko bagala atongoze obufumbo bwabwe kuba omwana wabendi Rema asobodde okwekuuma era agwanidde ekiddaala.

Wabula Kenzo bwabuziddwa ku nsonga eyo, okukuba Rema embaga agambye nti “sinaba, sinaba, sinaba, nange simanyi”.

Ebigambo bya Kenzo, kabonero akalaga nti Rema alina okulinda ennyo n’okuguminkiriza kuba bba eby’embaga sibyaliko mu kiseera kino.