Eddy Kenzo avuddeyo ku bigambibwa nti y’omu ku bayimbi abasinga okwagala abakyala mu ggwanga lino omuli n’abayimbi banne.

Bangi ku bannayuganda bagamba nti Kenzo wadde alina omukyala Rema Namakula, alina abawala abalala bangi nnyo omuli Pia Pounds omuyimbi mu kibiina kye ekya Big Talent.

Pia Pounds
Pia Pounds

Sabiti eno, Kenzo abadde mu kibuga Dubai era amawulire gabadde gayitingana mbu asula n’omuyimbi Lydia Jazmine era mbu baagalana.

Wabula Kenzo bwabuziddwa ku nsonga y’abawala abamwegwanyiza agambye nti bangi nnyo mu mawanga agenjawulo kyokka alina okwekuuma okusobola okuwangala.

Lydia Jazmine
Lydia Jazmine

Mungeri y’emu agambye nti yatandika okuyimba mu 2008 nga mwana muto nnyo era singa yasalawo okwebaka n’abawala abenjawulo, singa yafa dda.

Kenzo era agamba nti abakyala balina endwadde ezenjawulo n’ebizibu era kyamuyamba nnyo okwesonyiwa abakazi kuba atya ebizibu byabwe.