Bebe Cool awangudde award ya Afrima ng’omuyimbi asinga okuyimba mu East Africa ku mukolo ogubadde mu ggwanga erya Ghana.

Bebe Cool awangudde abayimbi ebenjawulo omuli Diamond Platnum (Tanzania), Harmonize(Tanzania), Kagwe Mungai (Kenya), Khaligraph Jones (Kenya), Nyashinsk (Kenya), Rayvzony (Tanzania) ne Yamiu Mola okuva mu Ethiopia.
Okuwangula kwe, kabonero akalaga nti mu East Africa, ye muyimbi omusajja asinga okuyimba.

Bebe asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusiima abantu bonna abawagizi be era agambye nti, “Just won an award for the best male Artist in East Africa at Afrima Awards 2018 Ghana ??…. Thanks for the support ma fans……Mighty Gagamel Phamily….We meet at Tondeka E Kiwatule on 26th December 2018”.