Omulangira David Wasajja y’omu ku bantu abasimatuuse okufiira mu mazzi mu kabenje k’eryato ku nnyanja Nalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria ku Lwomukaaga ku ssaawa 1:30 ez’ekiro.

Kigambibwa eryato lyabaddeko abantu abasukka mu 100 kyokka webwazibidde olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga Poliisi esobodde okuzuula emirambo 31 n’okununula abantu 27.

Abamu ku basimatuuse okufiira mu kabenje mulimu Francis Senkeezi, Andrew Luziba, Mark Sseremba, Freeman Kiyimba, Brian Jjuuko, Omuyimbi Irene Namubiru, Iryna Namutebi, Justin Tashobya n’abalala.
Wabula omusajja munnansi wa Kenya nga muvubi ku nnyanja Nalubaale George Onyango agamba nti yasobodde okutaasa abantu bangi ddala omuli n’omulangira Wasajja.

Onyango agamba nti yawadde omusajja omuggo okusobola okumutaasa okufa ng’ali n’abantu abalala kyoka oluvanyuma yamutegedde nti yabadde Omulangira Wasajja.

Amutegezeza nti olw’embeera, Omulangira yawunze kyokka oluvanyuma yasobodde okudda mu mbeera wadde abantu bangi bafudde.