
Kawonawo Kateregga Edward nga mutuuze we Namasuba, Kikajjo alombozze ekyavuddeko akabenje k’eryato ku lunnaku olwomukaaga ku nnyanja Nalubaale.
Kateregga agamba nti eryato kwabadde abantu bangi nnyo, eryato lyabadde ganyegenya nnyo era lyatandise okuyingiza amazzi mpolapola.
Mungeri y’emu agambye nti abakyala bebasinze okufa kuba bangi babadde tebamanyi kuwuga, obwedda bawogana ennyo nga bamira amazzi.
Abalala abasimatuuse okufa mulimu
Francis Senkeezi, Andrew Luziba, Mark Sseremba, Freeman Kiyimba, Omulangira David Wasajja, Brian Jjuuko, Irene Namubiru, Iryna Namutebi, Justin Tashobya n’abalala.