
Pulezidenti w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akungubagidde omuyimbi Moses Ssekibogo (Mowzey Radio) owa Goodlyfe eyaziikiddwa olunnaku olw’eggulo ku kyalo Kaga e Nakawuka.

Obubaka bwa Pulezidenti bwetikiddwa Minisita w’eggwanga ow’ebyobulambuzi, Godfrey Ssuubi Kiwanda mu kuziika olunnaku olw’eggulo era yagambye nti Radio abadde akyali mwana muto, alina talenti era eggwanga lifiriddwa nnyo omuntu abadde ekoze nnyo okutumbula ekisaawe ky’okuyimba ate abadde mwagazi w’ekibiina kya NRM ekiri mu buyinza.
Mungeri asuubiza nti Gavumenti ye egenda okunoonyereza okukwata omusajja eyamukuba.
Radio yakubwa nga 23, Janwali, 2018 mu bbaala ya “De Bar” Entebbe, nafuna obuzibu ku mutwe, omusaayi ne gutonya mu bwongo, ekyaviriddeko okuffa kwe.
Kinnajjukirwa nti mu 2016, Radio y’omu ku bayimbi abayimbi oluyimba lwa Tubonga Naawe, Pulezidenti Museveni nasobola okulweyambisa mu Kampeyini, okusobola okuddamu okuwangula obukulembeze bw’eggwanga lino.
