Juliana Kanyomozi
Juliana Kanyomozi

Abayimbi nga bakulembeddwamu Juliana Kanyomozi bavuddeyo era basabye Gavumenti okunoonyereza omuntu eyaviriddeko omuyimbi Moses Ssekibogo (Mowzey Radio) okuffa era yaziikiddwa olunnaku olw’eggulo e Kaga e Nakawuka.

Abayimbi banno abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Musicians’ Association bagamba nti Radio abadde akoze nnyo okutumbula ekisaawe ky’okuyimba kyoka okufa kwe, bangi bakoseddwa n’okusingira ddala babadde awandikira ennyimba.
Mungeri y’emu bagumiza omuyimbi Douglas Mayanja (Weasel Manizo) okuguma wadde aviriddwako muyimbi mu nne Radio.
Juliana agamba nti Radio asobola okuyimbi nga bw’abadde ng’ali ne Radio kuba musajja alina ekitone.