
Omuyimbi A Pass agumizza muyimbi munne Michael Ross kwebyo ebyamutuseeko mu kivvulu ky’omuyimbi Omumerika Elgin Baylor Lumpkin amanyikiddwa nga Ginuwine ku Speke Resort Munyonyo sabiti ewedde ku Lwomukaaga.

Mu kivvulu, Michael Ross yalinya ku siteegi okuzinira ku luyimba lwa Ginuwine kyokka bakanyama bamwanguyira ne bamusitula okumusuula wansi wa siteegi.
Abayimbi abamu bawagidde ekyakoleddwa bakanyama okuggya Michael Ross ku siteegi ate abalala bakiwakanyiza kuba ekyakoleddwa kiswaza n’okutyoboola abayimbi bannayuganda.

Ku nsonga A Pass agambye nti Michael Ross wadde bamuggye ku siteegi nga nkota y’ettooke talina kutya kuba tebamukubanga ku buccupa nga bwe gwali ku Bebe Cool.