Omuyimbi Jose Chameleone avuddemu omwasi ku kya Gavumenti okulonda abantu abenjawulo okutambuza emirimu ng’abayimbi tebafiriddwako.

Chameleone agamba nti Minisitule evunanyizibwa ku by’obulambuzi erina okusosowaza ennyo abayimbi mu kutumbula ebyobulambuzi kuba balina abagoberezi bangi nnyo okusinga okunoonya abantu nga Zari Hassan nga basinzidde ku bulungi bwa muntu.

Mungeri y’emu anokoddeyo abayimbi mu Uganda abasobola okukola obulungi omulimu gwo ogw’okutumbula ebyobulambuzi omuli Rema Namakula, Juliana Kanyomozi n’abalala.
Chameleone agamba nti abakulu abatuula mu woofiisi, okuwereza eggwanga bateekeddwa okukomya okweraga n’okukola ebintu ebiswaza Gavumenti.

Kinnajjukirwa nti Minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi yalonda Zari okuyambako mu kutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga lino era balambudde ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo kyokka tewali nsonga yonna yaweebwa bannayuganda lwaki Zari agwanidde omulimu ogwo okusinga ku bayimbi.

Ebigambo bya Chameleone, kabonero akalaga nti simusanyufu ne Minisita Kiwanda okulonda Zari wadde mukyala mulungi ate ng’abayimbi tebafunye mukisa ogwo.