
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu era omuyimbi Bobi Wine avumiridde ekitongole ekya Poliisi okuteeka ebyobufuzi mu mirimu gy’abantu.
Bobi Wine ategeezeddwa omukungu wa poliisi avunaanyizibwa ku bikwekweeto Asuman Mugenyi ku kitebe kya Poliisi e Naguru nti ebivvulu bye byonna ebibadde bitegekebwa bisaziddwamu okutuusa nga waliwo ekiragiro ekirala.

Bobi Wine abadde alangiddwa okuyimba mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo kyokka Mugenyi amutegezeza nti ebivvulu bye byonna si byakubeerawo.
Ku nsonga eyo, Bobi Wine agambye nti Poliisi esukkiridde okozesebwa okunyigiriza abantu nga berimbika mu mateeka ekintu ekikyamu era balina okukirwanyisa.

Kinnajjukirwa nti ku lunnaku olwa Ssande, Poliisi yayimiriza ekivvulu kya Bobi Wine mu bitundu bye Gulu kyokka tewali nsonga yonna yamuweebwa.
Bobi Wine agamba nti abasirikale bamutegeeza nti bafunye ekiragiro okuva eri “Above” okuyimiriza ekivvulu ekyali kitumiddwa ‘Kyarenga extra’.