Kyaddaki omuyimbi Bebe Cool afulumizza vidiyo y’oluyimba “Wasibukawa”.

Bebe asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okutegeeza abantu nti vidiyo yakwatiddwa mu ggwanga erya America era olunnaku olwaleero agenda kugifulumya.

Ku face book, ataddeko akitundu kya vidiyo era agambye nti yakwatiddwa bannayuganda abawangalira mu ggwanga erya America aba Sasha Vybz nga bakulembeddwamu direkita Sasha

Mungeri y’emu agambye nti asobodde n’okufulumya oluyimba olulala olutumiddwa “Easy” era zonna zikoleddwa ba Polodyusa abasinga obulungi mu America ate nga bannayuganda.