Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Dr Kizza Besigye asambazze ebiyiting’ana nti balina obutakaanya n’ekisinde kya ‘People Power’  ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Dr Besigye agamba nti betaaga abantu abenjawulo n’okusingira ddala abavubuka okuvaayo okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga lino.

Mungeri y’emu agambye nti omulimu abakulembeze abaludde mu byobufuzi gwe bakoze okulwanirira emirembe, obwenkanya n’enkyukakyuka y’emu ku nsonga lwaki abavubuka omuli Bobi Wine basobodde okuvaayo mulwatu okubegatako.

Besigye era agamba nti ye talina buzibu n’omuntu yenna avuddeyo okwesimbawo ku bwa Pulezidenti kuba balwana kufuna buyinza okukomawo mu mikono gy’abantu.

Dr Kizza Besigye ne Bobi Wine
Dr Kizza Besigye ne Bobi Wine

Besigye era awagidde ekya FDC obuteetaba mu lukiiko lw’ebibiina ebyegattira mu Interparty Organization for Dialogue (IPOD).

Bw’abadde ayogerera mu lukiiko lw’ekibiina kyabwe olumaze ennaku bbiri ku kitebe ky’ekibiina kino e Najjanankumbi, Besigye agamba nti tebayinza kuteeseganya na kibiina ekyawamba obuyinza bwabwe nga kyeyambisa emmundu.