Dr Stalla Nyanzi, aziddwayo ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 19, December, 2018.

Enkya ya leero, aleteddwa mu kkooti ya Buganda Road kyokka ategeezeddwa nti omulamuzi ali musango gwe Gladys Kamasanyu taliwo.

Omulamuzi abadde mu kkooti enkya ya leero, Robert Mukhanza ayongezaayo okutuusa nga 19, December, 2018.

Dr Stalla Nyanzi
Dr Stalla Nyanzi

Dr Nyanzi avunaanibwa emisango omuli egy’okuvoola n’okutyoboola ekitiibwa kya Pulezidenti Museveni wamu ne nnyina eyava edda mu bulamu obw’ensi eno Esteri Kokundeka, ng’akozesa omutimbagano nga 16 September, 2018

Oludda oluwaabi lugamba nti ebigambo byo, tebyakoma ku kuvvola Museveni wabula n’okutyoboola emirembe gye.

Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni

Kinnajjukirwa nti Dr Nyanzi yakwatibwa ku poliisi y’e Wandegeya gye yali agenze okusaba obukuumi nga yekalakaasa olwa bakulira yunivaasite y’e Makerere okugaana okumuzza ku mulimu gye.

Oluvudde mu kkooti eyali Pulezidenti w’ekibiina kya FDC Dr Kizza Besigye agambye nti Dr Nyanzi talina musango wabula kyaliko kiraga nti alemedde ku nsonga n’okulwanirira eddembe lye.

Besigye agamba nti bannayuganda beetegefu okulwanirira eddembe lyabwe mu buli ngeri yonna.