Omuyimbi Bebe Cool asiimye abawagizi be okumwesiga n’okumwagala era y’emu ku nsonga lwaki bajjumbira okulonda, okusobola okuwangula Award ya ‘AFRIMA’ ng’omuyimbi asinga okuyimba mu East Africa.
Bebe Cool agamba nti okuwangula kwe, kwalaga bantu nnyo nti bannansi bakiririza mu ndowooza ye
Mungeri y’emu abikudde ekyama lwaki ekyama lwaki akulungudde emyezi egigenda mwe 3 e Bulaaya.

Bebe Cool agamba nti abadde elina okunoonya ebyuma ebipya ebya tekinologye w’omulembe gunno, okusobola okufulumya ennyimba enungi okuvuganya mu nsi yonna.

Mungeri y’emu agambye nti asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo n’abayimbi ebweru w’eggwanga era zonna agenda kuzifulumya omwaka ogujja ogwa 2019 n’okutandikira mu Janwali.

Bebe Cool bw’abadde yakatuuka ku kisaawe Entebbe, ayaniriziddwa aba Famire nga bakulembeddwamu omukyala Zuena Kirema n’abaana bonna.

Zuena agambye nti abadde asubwa nnyo bba era awulidde essannyu okuddamu okumulabako.
Zuena okulaga essannyu, kabonero akalaga nti abadde asubwa ebintu bingi nnyo omuli n’ensonga z’omu kisenge kyokka bba (Bebe Cool) akomyewo okutandikira we yakoma.

 

Zuena
Zuena