Kkooti y’amaggye e Makindye erangiridde nga 17, December, 2018 okuwa ensala yaayo oba  Abdallah Kitatta ne banne balina emisango gye bateekeddwa okwewozaako oba nedda.

Enkya ya leero, munnamateeka wa Kitatta Shaban Sanywa atabukidde mu kkooti era awakanyiza abajjulizi abaletebwa n’ebizibiti.

Sanywa agamba nti abajjulizi bonna 4 abaletebwa mu kkooti, temuli yakola kunoonyereza yekka ng’omuntu, okumatiza kkooti nti ddala Kitatta yasangibwa n’emmundu ssaako ebyambalo by’amaggye era bonna mu kkooti bakozesa ekigambo kimu twakebera.

Shaban Sanywa
Shaban Sanywa

Mungeri y’emu agambye nti ebizibi byonna omuli emmundu, amasasi, ebyambalo by’amaggye, abajjulizi balemeddwa okumatiza kkooti nti byabo abakwatibwa kuba tebasangibwa nabyo.

Sanywa era agambye nti tewali bujjulizi bulaga nti abavunaanibwa bakabinja ka Badaboda 2010 wadde bulaga nti balina offiisi egambibwa nti yasangibwamu ebizibiti.

Ku nsonga y’emmundu ekika kya ‘Pistol’ enzirugavu egambibwa nti yasangibwa ne Kitatta, Sanywa agambye nti ya musirikale Ngoobi Sowali.

Ku nsonga ezo, munnamateeka Shaban Sanywa kwasinzidde okusaba kkooti abantu be, okubejjereza kuba tebalina musango gwona.

Wabula ssentebbe wa kkooti Ltn Gen Andrew Gutti alangiridde nga 17, December, 2018 okuwa ensala ku nsonga eyo.