Omuyimbi Lydia Jazmine myaka 27 y’omu ku bawala abato mu kisaawe ky’okuyimba abaliko era abatambuza abasajja akanaginagi.

Mu kiseera kino talina musajja yenna amanyikiddwa nti ye mutuufu era yabojjerera ebijjanjalo bye.

Mu mwezi ogwa October, kigambibwa Eddy Kenzo y’omu ku basajja abaali bamufukirira era mbu omukwano gwabwe gwali mu kibuga Dubai.

Wadde Kenzo byonna yabyegaana n’agamba nti ebyo bipangibwa abantu abalemeddeko okutabangula famire ye wakati we n’omukyala Rema Namakula n’okumulwanyisa mu kisaawe ky’okuyimba, kirabika abamu ku bannayuganda tebanamatira.

Lydia Jazmine
Lydia Jazmine

Jazmine amanyikiddwa ennyo olw’ennyimba ze omuli Guno Omukwano, Same Way, You and Me, Nkubanja n’endala asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga kye bayita omubiri.

Mungeri y’emu ataddeyo vidiyo okulaga engeri bw’alina omubiri omulungi era omusajja yenna by’alina okwegomba.

Rema
Rema

Abamu ku bantu bagambye nti byonna abikola okutengula emitima gy’abasajja abenjawulo omuli ne Kenzo.

Wadde bangi ku bantu bagamba nti Kenzo ne Jazmine bakola ebya taata ne maama, Rema ayongedde okubyesamba era tanaba kuvaayo okwogera ku nsonga ezo, akola mirimu gye.

https://www.instagram.com/p/BrmoOG6BY4D/