Omuyimbi Winnie Nwagi asemberedde okuwangula ‘Award’ y’okusabbalaza abasajja mu ggwanga lino.

Nwagi y’omu ku bakyala abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Matala, Munange, Kano Koze, Fire Dancer, Musawo, Detergent n’endala era zimufudde omukyala owenjawulo mu ngeri ezenjawulo.

Nwagi yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu era oluyimba lwe ‘Matala’ lusudde abantu eddalu.

Yasemberedde ku fulaayi y’empale y’omu ku badigize, omusajja yenna natuuyana era abamu bantu bawuliddwako nga bagamba nti ‘omusajja omukutudde patta’.