Omubaka Kato Lubwama (Lubaga South) ayogedde amazima lwaki bakkubaganye ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events mu kkiro ky’olunnaku Olwokutaano ku Spark TV mu pulogulamu Koona ekubirizibwa Miles Rwamiti.
Entabwe, yavudde ku promoter Bajjo okulangira Kato Lubwama obutamanya Lungereza era y’emu ku nsonga lwaki alemeddwa okuyamba omuyimbi Bobi Wine mu Palamenti ku nsonga ya Poliisi okumulemesa okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Wabula omubaka Lubwama agamba nti Bajjo asukkiridde okumanyira n’okuyisaamu amaaso abayimbi ne bannakatemba.
Mungeri y’emu yetondedde abantu olw’okusiwuuka empisa ku ttiivi wabula yakikoze okulabula abantu okukomya okumanyira omuyimbi oba munnakatemba yenna mu ggwanga lino.
Ate Bajjo agambye nti Kato Lubwama okulwanira ku Ttiivi yaswaziza ekitiibwa kya “honourable” era tasuubira nti ayinza okuyamba abayimbi mu Palamenti kuba n’ensonga z’ekitundu kye Lubaga South zimulemye kuba tamanyi Lungereza.